Versions:    < English  |  Luganda >
   
         
Wandikira: Katikiro w'ekika kye'njovu
P.O. Box 1250 Kampala
E-mail: katikkiro@njovu.org,  +256 752 728738

Ebitufaako
Entandikwa_yekika_kyenjovu_nebyafaayo_byaakyo
Ensibuko y’amannya mu kika
Enteekateeka_yekika_kyenjovu_mu_mitendera_egyenjawulo
Emirimu_gy_abenjovu_ku_Kabaka
Obukulu_obwensikirano_mu_kika
Obukulu_obutali_bwa_nsikirano_mu_kika
Enkiiko_enkulu_ezekika
Obuwangwa_ennono_obulombolombo_n_empisa
Translation Credits

Contact

Prime Minister Njovu Clan
P.O. Box 1250 Kampala
E-mail: katikkiro@njovu.org
Website: www.njovu.org

Ebitufaako  >>      Entandikwa Y’ekika Ky’enjovu N’ebyafaayo Byaakyo  

1. Ebiwanuuzibwa

Ebikwata ku ntandikwa y”ekika ky’abeddira enjovu biwanuuzibwa mu ngeri nnyingi.

Abamu bawanuuza nti ekika ky’enjovu kino kyasibuka wa Gguluddene Musookebwa (Katonda) mu masooka g’ensi.

Abalala bawanuuza nti ekika ky’abeddira enjovu kyasibuka mu musajja Kibaya, kyokka abantu gwe baali bakazizzako erya Musunku olw’okuba yalina ebyoya bingi ku mubiri ebyamulabisaanga ng’omuddo gwebayita Musunku.

Mbu Mukyala Kibaya yali wa kizaalaggumba. Yasooka n’azaala abaana babiri: omulenzi omukulu nga ye Sseggujja, omuwala nga ye Nnaggujja. Omukyaala bwe yaddamu okuzaala, ku mulundi guno yazaala kikulekule; anti mu kifo ky’omwana yazaala njovu. Mbu ab’enganda za Kibaya baamugaamba asuule ekikulekule kino mbu kubanga kyaali kiraanga bizibu mu maka gaabwe. Kibaya bwe byamugwa mu kutu, naye n’ateesa okusuula enjovu eno; kazzi abaana baganda b’enjovu (ekikulekule) bawulidde n’abo ne balinnya mu kyooto. Kye baakola, kwe kudduka awaka ne bagenda ne muganda waabwe “Wanjovu”.

Bwe baali tebannava waka, baakama amata g’ente ne bagasibira mu biwombo basobole okugabirira muganda waabwe.”Wanjovu”. Bwe batuuka awantu ne bakweeka enjovu eri ne bageenda ow’omusajja gwe basaba obubudamo era naye n’akkiriza okuwasa Nnaggujja, Bebbanga mpola ne bagenda okugabirira muganda waabwe enjovu okutuuka amata lwe gaabagwaako, enjovu n’efa. Baagibaaga ne bagiggyako eddiba ne balibaamba nga beyambisa emmambo. Wano erinya Ssemmambo erituumwa ennyo mu kika kino we lyaava. Erinya Batte nalyo kkulu nnyo mu njovu; litujjukiza abaaleeta ekiteeso nti batte enjovu. Enjovu bwe baamala okugiggyako eddiba ne bagikaza ne gufuuka omukalo. Erinnya Mukalo ery’Omukulu Ow’akasolya k’abeddira enjovu we lyaava.
Ab’enjovu bangi bawanuuza nti ekika kyabwe tekyatandikibwawo bantu nga bika birala. Bo ab’enjovu bagamba nti ekika kyabwe kye kimu ku bika abiri mu omukaaga (26) ebyatondebwa Katonda mu maaso g’ensi. Ab’enjovu bageenda mu maaso ne bagamba nti Katonda naye yeddira Njovu.Okumatiza ensi nti Katonda wa Njovu ate olaba be basamirira Katonda ono. Ku nsonga yeemu, ekika ky’Enjovu kye kika ekirimu emisambwa emikulu era ky’ekika kyokka ekirimu ebiggwa by’emisambwa.

Ennyanja Nnalubaale abaziranjovu bagirinako ebyafaayo bikukuutivu. Erinnya ly’enyanja eyo Nnalubaale bagamba nti lyaava ku muwala ow’enjovu Nnalubaale owa Ggulu e Busaabala. Kakembo yava ku kizinga Bulingugwe ekiri mu nnyanja Nnalubaale alyooke adde e Zzirannumbu era kumpi n’ennyanja. Ye Ggulu obutaka bwe buli ddala ku nnyanja e Busaabala. Abataka abo gattako mukulu waabwe Kikomeko e Luubu ennyanja Nnalubaale bagifuula kumpi yaabwe. Mu mwaalo Buvumbo ogwa Kikomeko e Luubu, Lubaale Mukasa weyasomokeraanga ng’ayingira Obuganda.

Abalala bo bagamba nti ekika ky’enjovu kyatondebwa mu ggulu, era nti kye kimu ku bika ekkumi n’ebibiri ebyakka ne Kabaka Mukasa. Mbu ebika ebyo byakkira ku mutala Kiganda mu Ssingo, so si Butonda.

2. Ebiwandiike

Abawandiisi by’ebyafaayo n’ebifa ku nsibuko z’abantu mu nsi abawerako bawandiika ku nsibuko n’ebyafaayo by’ekika ky’enjovu. Mw’abo mwe muli Sir Apolo Kaggwa Kalibbala (Gulemye), eyali Katikkiro wa Ssekabaka Danieri Mwanga Bassamula era eyali Katikkiro era omukuza (Regent) wa Ssekabaka Sir Daudi Cwa Bukajumbe; wamu n’omugenzi Michael Bazzebulala Nsimbi.

Kakensa MB Nsimbi mu kitabo kye “Amannya Amaganda N’ennono Zaago” alambika bulungi ensibuko yekika ky’Enjovu. Agamba bw’ati:

“Jjajja w’Ekika kino ye Sessanga. Ssessanga yajja ne Kintu, era Ssessanga oyo ye yali omukwasi w’amafumu ga Kintu n’engabo ye. Kintu bwe yamala okukuba ekibuga kye ku Nnono, naddira musajja we Sessanga n’amuwa ekifo Ntonnyeze ekiri mu Busujju. Ku Ntonnyeze Sessanga kwe yazaalira omwana we Mukalo. Sessanga bwe yafa omwana we Mukalo n’amusikira. Kabaka Ccwa I ye yajja Mukalo e Ntonnyeze n’amusimbira omutuba ku Kambugu. Okuva olwo n’okutuusa kati obutaka bwa Mukalo obukulu buli Kambugu. Mukalo ye mukulu ow’akasolya afuga Ekika ky’enjovu”.

Baganda ba Mukalo abamuyimirira mu mugongo ng’asikira kitaabwe Sessanga be baavaamu Ennyiriri Ennangira oba ezomu Kasolya ezetuukira obutereevu ewa Mukalo; era zezino:
1. Olunyiriri lwa Kinviirewo, e Kambugu, Busiro
(Luno mwemuva abalya obwa Mukalo);
2. Olunyiriri lwa Kayaaye, e Ntonnyeze (Nnono) Busujju;
3. Olunyiriri lwa Katunda, e Ntonnyeze (Nnono), Busujju;
4. Olunyiriri lwa Mulyanga, e Bulenga, Busiro
5. Olunyiriri lwa Kannantebya, e Kiteezi, Kyaddondo.
6. Olunyiriri lwa Kasiwukira, e Kitagobwa, Kyaddondo
7. Olunyiriri lwa Bijugo, e Kitegombwa, Kyaddondo.
8. Olunyiriri lwa Katagaliko, e Kalemba, Bugerere.

Ku Kambugu, Mukalo kwe yazaalira abaana be bano Ab’Amasiga abamutuukako:
1) Kikomeko, e Luubu, Mawokota
2) Ggulu, e Busaabala, Kyaddondo
3) Kakembo, e Zzirannumbu, Kyaddondo
4) Ntambi, e Lubya, Kyaddondo
5) Ssebanyiiga, e Kyaazi (Kojja), Kyaggwe
6) Ssentomero, e Zzinga (Bukunja), Kyaggwe
7) Ssemakadde, e Mpuku, Kyaggwe
8) Ssemmambo Ssebuwufu Ssewandigi, e Buligi, Butambala

Ennyiriri ezo Ennangira n’Amasiga mwe mwaava Ekika Ky’Enjovu nga bwekimanyiddwa kakati. Ennyiriri Ennangira zazaala Empya enkulu mu Nnyiriri ezo. Amasiga gazaala Emituba. Emituba ne gizaala Ennyiriri. Ennyiriri ne zivaamu Empya.

3. Ebimannyiddwa mu nsikirano n’awalala

Ebyafaayo bingi eby’ekika bimannyiddwa mu nnyiriri ezo mu kasolya ne mu masiga naye si biwandiike. Ebyafaayo bino wamu n’ennono, empisa n’obulombolombo bikyetaaga okunoonyereza, okukung’azibwa n’okwetegerezebwa okusobola okujjuzza n’okugezza enkuluze y’ekika.

Bino wammanga bye bitono omuwandiisi by’asobodded okufuna okuva mu bakulu.

a) Ba Mukalo abakulembedde Ekika n’okuzaala kwaabwe

Ba Mukalo kkumi na munaana abamannyiddwa be bakakulembera Ekika ky’Enjovu. Kino kibaddewo ebbanga lyonna nga kigoberera ensikirano okuviira ddala ku Ssewamala Kibaawo Mukalo e Walusi okutuuka ku Mukalo aliko Ssessanga II.
Wetegereze kino:

Waliwo abagamba nti Ssewamala Kibaawo Mukalo ye yazaala bano:
1) Ssemanda, e Mirembe, Kyaggwe
2) Kabaka Buganda, e Lunnyo, Ntebe, Busiro
3) Bemba Musota, e Buddo, Busiro
4) Mubanda Banda Ndawula
5) Kationsanze, e Bulubaale, Busiro

1. Ensonga eno ekyetegerezeebwa kubanga waliwo n’ebika ebirala ebibala abo abemennyeddwa waggulu nti baabwe.
2. Okusinziira ku byafaayo ebyo waggulu, amasiga gatandikira ku Muyonjo Bukulu ng’oyo ye Mukalo ow’omweenda (9).

b) Enfo Ba Mukalo gye baaziikibwa
Ssewamala Kibaawo Mukalo agalamidde Kirongoosa e Walusi mu Bulemeezi.
Ba Mukalo bano wammanga bagalamidde Ntonnyeze mu Busujju:

 Kalagala Mukalo
 Ssentulubalo Mukalo
 Ssezzooba Mukalo
 Ssemayanzi Mukalo
 Mabejjo Mukalo
 Kibaawo II Mukalo
 Ssessanga I Mukalo
 Muyonjo Bukulu Mukalo (ono yatambwa)
 Kinviireewo Mukalo
 Mukwanguzi Mukalo

Ba Mukalo ab’oluvannyuma bonna bagalamidde Kambugu mu Busiro, era be bano:

 Ssewaaya Ssekibi Mukalo
 Nnalukoola Mukalo
 Firikisi Ssekandi Mukalo
 Paulo Kayonde Mukalo
 Petero Kikomeko Mukalo

4. Ekiwendo ku beddira Enjovu

Ab’Enjovu bebazaala Ssekabaka Kagulu Tebutwereke eyadaaza ensi. Omukyaala eyamuzaala ye Nnaggujja, muwala wa Mulyanga e Bulenga. Ab’enjovu okuzaala Kabaka Kagulu kwabaviiramu ebizibu ebitagambika era kwabeegassa ku Kika ky’Effumbe ne bafuuka ng’ab’ekika ekimu.

Olwatuuka Kagulu n’aloondebwa okulya ObwaKabaka. Bwe yamala okuloondebwa, abataka ne bakojjaabe ne balaba nga Kagulu tayinza kubuuka ssanga ng’empisa ya Bakabaka bwe yabaanga, kubanga nnyina olw’okuba ow’enjovu n’essanga lyalinga nnyina.

Walusimbi ne Mukalo baali banywaanyi ba mukago. Kyebaava bateesa okugata Ekika, Kagulu bamuyite Ow’effumbe, era bwe gwali.

Kagulu bwe yamala okulya obwakabaka n’aba mukambwe nnyo. Obuganda tebwaalwa ne bumujeemera n’agobebwa ku Namulondo. Kagulu bwe y’ava ku Namulondo Kikulwe ye yaddako. Kikulwe yagenda okulinnya ku Namulondo ng’Obuganda bulimu akajagalalo kannene olw’effugabi lya Kagulu eryali liralusizza abantu. Kikulwe ku Namulondo teyalwaako. Olwagivaako Muganda we Mawanda n’agiddako.

Mawanda olwaalya Obuganda n’atandika okuyigganya n’okutta Ab’enjovu olw’okuzaala Kabaka Kagulu eyadaaza Abalangira n’abakopi. Ntambi, Kojja wa Kagulu era Katikkiro we, baamutikkira mu butaka bwe ku Lubya. Abaganda baamuggyako n’enjogera egamba nti:

‘ Zikumye ezaalema Ntambi e Lubya’ (embiro)

Ntambi yali mukadde. Yaddukako katono nga tasobola, nga basogga. Ssensalire e Kawoko ne Kikomeko e Luubu be baawona okuyigganyizibwa mu kiwendo ekyo. Ssensalire omulimu gwe ogw’okusumba gwe gwamuwonya. Kikomeko ekyamuwonya kwe kuba omukuumi w’omwalo Buvumbo, Mukasa ne balubaale b’e Ssese abalala mwe bayitanga oluusi nga bagenda eri Kabaka. Si ekyo kyokka, naye ne Kabaka Mawanda bamugamba nti togeza n’otta Kikomeko kubanga y’akomeka ennyanja. Bw’onomutta ajja kuta ennyanja emaamire Obuganda. Bwe yawona, kwekukweekwa ne muto we Ssemmambo Ssebuwufu Ssewandigi.

Ekiwendo ekyo kyayongera nnyo okugatta Ab’enjovu ku kika ky’abefumbe era amannya agamu gafaanana mu bika byombi.

Mu kiwendo kino ne Muyonjo Bukulu Mukalo omukulu w’ekika yatambwa, ekika ne kisigalira awo. Yali wa kitiibwa nnyo nga ate ekisaakate kye (amaka ge) tekyenkanika obuyonjo n’obulungi wonna mu Buganda. Wabula bamutamba azadde abaana be abalenzi munaana (8) oluvannyuma abaafuuka ab’amasiga.

5. Ab’Enjovu baddamu okusituka
Nnanteza muwala wa Ggulu ye yasitula ab’Enjovu ng’amaze okuzaala Kabaka Jjunju ne Ssemakookiro. Nnanteza yali Nnamasole ku baana be abo bombi nga balidde Obwakabaka. Nnanteza Abaganda gwe baggyako olugero olugamba nti

“Ekitembe tekissa ebiri, wabula ekya Nanteza”

Abamanyi bagamba nti Ssekabaka Jjunju ng’alidde Obwakabaka yanoonya mangu omuntu omukulu mu lulyo lwa Muyonjo Bukulu Mukalo asikire Mukalo eyatambwa Ssekabaka Mawanda. Kabaka y’atumya mangu Kikomeko ajje atuule muntebe za bajjajja be. Kirabika Kikomeko yekengera okugenda embuga muli ng’alowooza nti ssi kulwa nga naye bamutamba nga kitawe. Olw’okwekunya kwa Kikomeko ate Kabaka ng’ayagala entebe ya Mukalo ejjuzibwe mangu mu lukiiko, y’asaba aweebwe omuntu omulala akikirire ekika. Wavvuvumira, muto wa Muyonjo Bukulu Mukalo, yavaayo ne yeyanjula ewa Kabaka ng’ava Ntonnyeze ku butaka. Kabaka Jjunju mu kiseera ekyo yali abeera Kiwawu e Busujju era nga kyanguyira Wavvuvumira okukiika embuga kubanga Ntonnyeze tekiri wala okuva e Kiwawu. Ebitundu byombi biri Busujju.

Bwe wayita ekiseera, Ssemakokiro, omwaana ow’okubiri owa Nnanteeza, n’adda ku Nnamulondo ng’asikidde mukulu we Jjunju. Ssemakokiro olubiri lwe y’alukuba Nnyanj’eradde (kakano awali Makerere University). N’ono Kabaka y’ayagala nnyo Mukalo obutabula mu lukiiko. Naye olw’obukadde, Wavvuvumira y’azibuwalirwa ekisusse okusiyaggukanga eggendo olutatadde ajje okukiika ku kibuga, era y’akiika embuga emirundi mitonotono n’asaba Kabaka asiime ekika kikirirweenga omwaana waabo Kinvireewo, omwaana wa muganda we Kayaaye, eyali akyaalimu embavu. Kinvireewo naye nga wayise ekiseera olugendo lwamukalubirira. Kabaka kye y’ava amuwa e Kambugu mu Busiro okumpimpi aleme kubulanga mu lukiiko.

Era bagamba nti Bukulu Muyonjo Mukalo yaweebwa ebyalo mwenda olw’okuwayo amasanga geyalina eri Kabaka.
Ebyalo bye bino: Kambugu lwemwedde, Kalega, Namutenga, Kifumbe, Gamba, Busaawa, Wabiyinja ne Tumbaali.

Abamanyi bagamba nti olwo lwe lwajja Mukalo e Ntonnyeze n’adda e Kambugu. Wavvuvumira ne Kayaaye n’abataka abakulu abaaliwo mu kiseera ekyo bo basigala ku butaka e Ntonnyeze. Kinvireewo n’afuna obutaka bwe e Kambugu era n’akola obwa Mukalo ng’asinzira awo. Ebintu nga biteese, abaana ba Muyonjo Bukulu Mukalo be bavaamu amasiga ge tumanyi kati. Abaana b’abataka be Ntonnyeze bwe bagenda bazaala be bavaamu ennyiriri ezomu Kasolya eziriwo kati.

6. Bassekabaka Ab’enjovu

Bano be BASSEKABAKA ab’Enjovu

1. Kagulu Tebutwereke
2. Jjunju
3. Ssemakookiro
4. Muteesa I

Waggulu^^

Events at Njovu Clan.
Amawulire n'ebifa mu kika.
Yagala nnyo ekika kyo!!

Play our clan anthem here....

Wuliriza oliyimba lye kika.koona ku ka peesa a'kaliko "Play" wangulu

Watch the clan documentary
"EKIKA KYO NJOVU" on DVD
____________________________
The Njovu Clan at the BUGANDA CULTURE & TOURISM EXPO 2011

E'kika kye Njovu ku mikolo gya
BUGANDA CULTURE & TOURISM EXPO 2011
______________________________

 
 
 
Mail/Ebbaluwa yo © 2008-11 Njovu Clan Webmaster | Credits