Versions:    < English  |  Luganda >
   
         
Wandikira: Katikiro w'ekika kye'njovu
P.O. Box 1250 Kampala
E-mail: katikkiro@njovu.org,  +256 752 728738

Ebitufaako
Entandikwa_yekika_kyenjovu_nebyafaayo_byaakyo
Ensibuko y’amannya mu kika
Enteekateeka_yekika_kyenjovu_mu_mitendera_egyenjawulo
Emirimu_gy_abenjovu_ku_Kabaka
Obukulu_obwensikirano_mu_kika
Obukulu_obutali_bwa_nsikirano_mu_kika
Enkiiko_enkulu_ezekika
Obuwangwa_ennono_obulombolombo_n_empisa
Translation Credits

Contact

Prime Minister Njovu Clan
P.O. Box 1250 Kampala
E-mail: katikkiro@njovu.org
Website: www.njovu.org

Enteekateeka Y’ekika Ky’enjovu Mu Mitendera Egy’enjawulo 

Ebisookerwaako

Enteekateeka y’ekika ky’enjovu yesigamye ku emitendera esatu era gye gino:
1. Akasolya
2. Ennyiriri ennangira oba ezomu kasolya
3. Amasiga

1. Akasolya
Mukalo ye mufuzi owo ku ntikko mu kika ky’enjovu, era yafuga akasolya. Ye jjajja w’ekika nga ye musika wa Ssessanga omutandisi w’ekika.
Mukalo alina Katikkiro amuyamba okufuga ekika. Katikkiro alina cabinet oba akakiiko akaweereza akamuyamba okutuukiriza obuvunanyizibwa obumukwaasiddwa.

Mu kasolya eriyo enkiiko ssatu eziteesa ku bikwaata ku kika, era ze zino:

1. Olukiiko lw’ennono
2. Olukiiko olufuzi
3. Olukiiko lwa bonna

Enkiiko zino z’onsatule ziyamba Mukalo okuddukanya n’okutereeza ekika. Katikkiro n’abayambi be bassa mu nkola ebyo ebiba biyisiddwa enkiiko zino.
Ebigambo byonna ebikwaata ku nkiiko zino bisangibwa mu nnyingo ey’omunaana eyo mu maaso mu kitabo kino.
Mu nnyiriri ennangira oba ezo mu kasolya eriyo empya enkulu omuyingira abazzukulu. Ate mu masiga eriyo emituba, enyiriri n’empya. Ennyiriri ennangira ze zizaala empya ennangira; ate amasiga ne gazaala emituba, emituba ne gizaala ennyiriri, ennyiriri ne zizaalibwa empya ate ennyumba ez’enjawulo ne zizaala empya.

Bino byonna bifunziddwa ne biragibwa mu kifanaanyi kino wammanga:

2. Ennyiriri zomu Kasolya
Ennyiriri ennangira oba ezo mu kasolya zisibuka mu mutandisi w’ekika Ssessanga, era abakulu baazo basibuka mu baganda ba Mukalo omukulu w’ekika eyasikira Ssessanga. Buli lunyiriri muvaamu empya enkulu.

Ennyiriri zomu kasolya mu kiseera kino ziri munaana nga bwe twaalabye emabega mu nnyingo esooka.

2.1 Olunyiriri lwa Kinviirewo
Mu lunyiriri luno mwemuva abalya obwa Mukalo
Mu lunyiriri muno mulimu empya zino:

1) Ssessanga, e Kambugu, Busiro
2) Paulo Maganja, e Lweeza, Mukono, Kyaggwe
3) Amuli Kakembo, e Mbulire, Buddu
4) Mpawo Aligamanya, e Nnamungo, Ssingo
5) Yosia Lwanga, e Kasasa. Buddu
6) Kalibwaani, e Ttala, Buddu
7) Maanyigeeka, e Nnakyesanja, Kawanda, Kyaddondo
8) Zirirya Ssemakadde, e Kiganda, Ssingo
9) Byataaba, e Kyabadaaza, Mawokota
10) Mukasa Kasaanga, e Buddu

2.2 Olunyiriri lwa Kayaaye

Mu lunyiriri muno mulimu empya zino:
1) Kayaaye e Ntinda, Kyaddondo
2) Katunda e Kiwumu, Mawokota
3) Ssekyeenyi e Gganda, Busiro
4) Ssemukoteka e Masajja, Kyaddondo
5) Mulagwe e Kitovu, Busiro

2.3 Olunyiriri lwa Katunda
(Empya eziri mu Katunda tezinawerezebwa)

2.4 Olunyiriri lwa Mulyanga
Mu lunyiriri muno mulimu empya zino:

1. Mulyanga, e Bulenga, Busiro
2. Ssegiriinya, e Nnamusera, Busiro
3. Mugumba, Mulumuli, Busiro
4. Jjulume, e Luubu, Mawokota
5. Maluma, e Kimbo, Ggomba

2.5 Olunyiriri lwa Kannantebya
(Empya eziri mu Kanantebya tezinawerezebwa)

2.6 Olunyiriri lwa Kasiwukira
(Empya eziri mu Kasiwukira tezinawerezebwa)

2.7 Olunyiriri lwa Bijugo
(Empya eziri mu Bijugo tezinawerezebwa)

2.8 Olunyiriri lwa Ntegerayi Kayonde Katagaliko

Mu lunyiriri muno mulimu empya zino:
1. Kataliko Ssessanga, e Kisugga, Bugerere
2. Ntegerayi, e Busungire, Bugerere
3. Mutundi, e Kibbaale, Kidera, Busoga
4. Bukulu, e Ntimba, Bugerere
5. Butaamale, Kyaanya, Bugerere
6. Kiseegu, e Kiwongeere, Kidera, Busoga

3. Amasiga
Amasiga gaasibuka mu baana ba Mukalo omunaana (8), abamenyeddwa mu nnyingo esooka. Buli ssiga girina emituba gyaagyo emitongole nga gikulemberwa abaana b’omukulu w’essiga.

3.1 Essiga lya Kikomeko e Luubu, Mawokota

Mu ssiga lino mulimu emituba gino:
1) Lugumira Ssennungi, e Bunyiri, Kyaggwe
2) Mbazzi, e Buwundo, Mawokota
3) Kirenge, e Kkonkoma, Mawokota
4) Ssemukina, e Mulwanga, Mawokota
5) Kayiga, e Buyiga, Mawokota
6) Wav’omukozi, e
7) Mitigyajjuuni
8) Bukulu

3.2 Essiga lya Ggulu e Busaabala, Kyaddondo

Mu ssiga lino mulimu emituba gino:
1. Lukuba, e Nnamasuba, Kyaddondo
2. Lutabi, Muggulu, Bulemeezi
3. Nnaggulumbya, e Kijjanangabo, Busiro
4. Kayage, e Mubanda, Busiro
5. Ssenduli, e Kisinsi, Kyaggwe
6. Nkakya, e Wakataayi, Bulemeezi
7. Lubuzi, e Masajja, Kyaddondo
8. Ssempowojjo, e Ssemuto, Bulemeezi

3.3 Essiga lya Kakembo e Zzirannumbu, Kyaddondo
Mu ssiga lino mulimu emituba gino:
1. Ssempyangu, e Busabala, Kyaddondo
2. Sseryenvu, e Bukule, Kyaggwe
3. Ssekimpi, e Zzirannumbu, Kyaddondo
4. Bbengo, e Lubya, Kyaddondo
5. Mawongoma, e Kkooki,

3.4 Essiga lya Ntambi e Lubya, Kyaddondo
(Emituba gya Ntambi teginawerezebwa)

3.5 Essiga lya Ssebanyiiga e Kyaazi (Kojja), Kyaggwe
(Emituba gya Sebanyiiga teginawerezebwa)

3.6 Essiga lya Ssentomero e Zzinga (Bukunja), Kyaggwe

Mu ssiga lino mulimu emituba gino:
1. Ssekalongo Mubanda, e Kisoga, Kyaggwe
2. Ssebbobbo, e Kasubi, Kyaggwe
3. Nnangya, e Kakakala, Kyaggwe
4. Lutabi, e Buwunga, Kyaggwe
5. ………., e Ngogwe, Kyaggwe
6. Kalamba, e Nnangwa, Kyaggwe

3.7 Essiga lya Ssemakadde e Mpuku, Kyaggwe
Essiga lino terinalabika (linonyezebwa)

3.8 Essiga lya Ssemmambo Ssebuwufu Ssewandigi, e Buligi, Butambala

Mu ssiga lino mulimu enyiriri ezetuukira ku ssiga obutereevu, era ze zino:
1) Kalyaagonja (mu lunyiriri mwe muva Ow’essiga)
2) Kibombo
3) Kifundikwa

Gino gy’emituba egiri mu ssiga lino:
1) Banaanywa, e Sseeta-Mpereerwe, Kyaddondo
2) Gabunga-Ssozi, e Lugazi, Ssingo
3) Musunku-Kalimu, e Lwemwedde, Ssingo
4) Bataddewo-Ssozi, e Sseeta, Ssingo
5) Mukasa-Kirwaana, e Butereere, Buddu
6) Zzibi, e Kalagi, Kyaggwe.
7) Lugongogongo, e Nseke, Mawokota
8) Ssinakwaamba, e Lungujja, Butambala
9) Kigayaza, e Kasuula, Buddu
10) Kibi, e Ngomannene, Ggomba
11) Kalaala, e Mawukwe, Kyaggwe
12) Kigonvu, e Kazo, Kyaddondo
13) Balirwaana, e Wattuba, Bulemeezi
14) Kamanyiro, e Kiwanga, Kyaggwe

Waggulu^^

 

Events at Njovu Clan.
Amawulire n'ebifa mu kika.
Yagala nnyo ekika kyo!!

Play our clan anthem here....

Wuliriza oliyimba lye kika.koona ku ka peesa a'kaliko "Play" wangulu

Watch the clan documentary
"EKIKA KYO NJOVU" on DVD
____________________________
The Njovu Clan at the BUGANDA CULTURE & TOURISM EXPO 2011

E'kika kye Njovu ku mikolo gya
BUGANDA CULTURE & TOURISM EXPO 2011
______________________________

 
 
 
Mail/Ebbaluwa yo © 2008-11 Njovu Clan Webmaster | Credits