Versions:    < English  |  Luganda >
   
         
Wandikira: Katikiro w'ekika kye'njovu
P.O. Box 1250 Kampala
E-mail: katikkiro@njovu.org,  +256 752 728738

Ebitufaako
Entandikwa_yekika_kyenjovu_nebyafaayo_byaakyo
Ensibuko y’amannya mu kika
Enteekateeka_yekika_kyenjovu_mu_mitendera_egyenjawulo
Emirimu_gy_abenjovu_ku_Kabaka
Obukulu_obwensikirano_mu_kika
Obukulu_obutali_bwa_nsikirano_mu_kika
Enkiiko_enkulu_ezekika
Obuwangwa_ennono_obulombolombo_n_empisa
Translation Credits

Contact

Prime Minister Njovu Clan
P.O. Box 1250 Kampala
E-mail: katikkiro@njovu.org
Website: www.njovu.org

Eka   |    Ebitufaako  >>       Obukulu Obutali Bwa Nsikirano Mu Kika  

Obukulu obutali bwa nsikirano buliwo kuyamba ku Mukalo okukulembera Ekika. N’olw’ekyo Omutaka Mukalo y’ensibuko y’obuyinza bw’obukulu buno. Obukulu buno buliwo kukulembera mirimu gya Kika.

Abakulembeze oba abakuku bano balondebwa bulondebwa mu mitendera egitali gimu egiragiddwa mu maaso eyo mu nnyingo eno.

Abakulembeze bano ssi ba nsikirano era obukulu bwaabwe bumala kiseera kigere okusinziira ku Constitution eno. Mu Kika banaayitibwanga BAKUNGU oba Baami ba Mukalo.

Ab’amasiga n’ab’ennyiriri ez’omu Kasolya, okuva lwebali ab’ensikirano, temuveengamu aweebwa ekimu ku bifo ebyo eby’abakulembeze abalonde.

Abakulembeze abaloondebwa obulondebwa banawerezaanga ekika mu bifo ebyo ebbanga lya myaaka etaano (5).

Bano wammanga bebanaabaanga Abakungu oba Abaami ba Mukalo abaanaakulemberanga emirimu egy’enjawulo emitongole mu Kika.

1. Katikkiro w’Ekika
2. Bammemba b’Akakiiko Akaweereza (Cabinet)
3. Ababaka ba Mukalo mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo n’ebweeru wa Buganda
4. Ababaka abakikirira abakulu b’amasiga n’ab’ennyiriri z’omu Kasolya

1. Katikkiro

Ekika ky’enjovu kinaabanga ne Katikkiro. Katikkiro analoondebwaanga buloondebwa. analondebwanga okuva mu manya asatu (3) omutaka MUKALO ganayanjuliranga Olukiiko Olw’akasolya erinya eriyiseemu linalangirilwa mu lukiiko olufuzi.
Katikkiro ye Mukungu asooka mu baami ba Mukalo bonna. Ye mukungu owoku ntikko akulembera emirimu gyonna emitongole mu kika wansi wa Mukalo. Ye musajja wa Mukalo enkwaatangabo atabula mu nsonga zonna ez’amaanyi era ez’obuvunanyizibwa mu Kika. Ye muwi w’amagezi owoku ntikko ow’Omutaka Mukalo era ye mubeezi we ku buli kikwaata ku nfuga y’ekika.

1.1 Ennonda ya Katikkiro n’ekiseera ky’anafugiranga
Katikkiro analondebwaanga okuva mu mannya asatu (3) omutaka Mukalo ganayanjuliraanga Olukiiko Olw’akasolya oyo aloondeddwa analangirirwanga mu Olukiiko Olufuzi.

Mukalo, ng’awereddwa amagezi, anaabanga n’obuyinza okuwummuza oba okugoba Katikkiro we nga waliwo ensonga ey’amaanyi.

1.2 Ebisaanyiizo
Mukalo analoondanga omuntu alina ebisaanyizo bino wammanga:

 Akakasiddwa era asembeeddwa Essiga lye oba Olunyiriri lwomu kasolya mw’ava. Mukalo nga     tannaba kwatula oyo gw’asiimye okuwa Obwakatikkiro aneebuzaanga ku Mukulu w’Essiga oba ku     Mukulu w’Olunyiriri Olwomu kasolya oyo gw’alowooza okuloonda mw’ava akakase nti ddala     omuntu oyo Wanjovu era Muganda. Ow’Essiga oba Ow’Olunyiriri Olwakasolya anaawanga Mukalo     ebyafaayo ebimpimpi naye nga biggumivu ku muntu oyo nga bitwaalimu bintu bino ebikulu:     amaka mw’ava; oluggya mw’ava; olunyiriri mw’ava; n’omutuba mw’ava.
 Asembebwa Olukiiko lw’Ennono
 Muwagizi wa lulango ow’Ekika kye wamu n’Obuganda
 Muwulize eri Ssabasajja Kabaka
 Assa ekitiibwa mu nnono n’obulombolombo; era mukenkufu mu byo.
 Y’asoma era alina diguli oba ebbaluwa eyenkankana ne diguli, era mugunjufu.
 Asobola okwogera mu bantu obulungi n’okubawa obubaka obulangulukufu.
 Akolagana bulungi n’abantu bonna awatali kusosola ng’asinziira ku nzikiriza zaabwe oba nkula     yabwe ng’abasajja oba abakazi, oba ku myaaka gyaabwe, oba ku bifo bye balimu mu nsi, oba ku     nfuna yabwe.
 Mwesimbu era si wankwe; ate takyuusakyuusa bigambo
 Alina amaka era mufumbo
 Mutuuze mutuufu gy’abeera era kyakulabirako mu kitundu ky’ewaabwe.
 Tazzanga ku misango gimennya mateeka.
 Si mutamiivu
 Takka wansi wa myaaka asatu egy’obukulu.
 Tasibwangako mu kkomera oba okutanzibwa aleme kusibwa.
 Takolanga kivve mu nsi era taaliko bbala livumaganya mpisa ze wonna mu nsi, kakibe mu     Buganda wadde ebweeru wa Buganda.
 Mwesimbu era munnaddini.

Abakulu b’ennyiriri ezomu kasolya, baganda ba Mukalo Omukulu W’Ekika, n’ab’amasiga, abaana ba Mukalo, tebaryeenga Bwakatikkiro bwa kika.

1.3 Ekiseera Katikkiro ky’anafugiranga
Katikkiro anaaweerezaanga ebisanja bibiri nga buli kimu nga kya myaaka etaano(5). Tasussenga myaaka kkumi ku bwa Katikkiro okuggyako nga Omutaka Mukalo y’amusabye okweyongerayo. Mukalo bw’anaamwongerayo ebisanja bya Katikkiro mu ngeri eno, Katikkiro tasussenga myaaka mirala ebiri ku ntebe.

Katikkiro anaabaanga n’eddembe okuweereza ekisanja ekimu oba okusaba Mukalo okuwummula ng’emyaaka ekkumi teginnaggwaako. Kino bwekinabaangawo, Katikkiro anawaanga mu buwandiike ensonga emusindise okuwummula. Katikkiro bw’anaabanga akkiriziddwa okuwummula, Akakiiko ke kakulembera Akaweereza annawumulanga n’ako, kino kisobozese Katikkiro omuggya okujja ne Gavumenti eyiye gyeyerondedde.

Okuwummula Katikkiro anaakusabanga Mukalo ng’ebula ekiseera ekisaanidde, gamba emyeezi mukaaga, kiryooke kisobozese Mukalo okuba n’obudde obumala okuloonda omuntu omulala adde mu kifo kye. Mukalo anaamanyisanga mangu Olukiiko olw’Ennono n’Olukiiko Lwabonna ku kuwummula kwa Katikkiro.

1.4 Katikkiro Awummudde nga bw’anayisibwaanga

Katikkiro awummudde ku lulwe oba amazeeko ebisanja ebibiri (gy’emyaaka 10), anasigalanga aweereza ku Kakiiko Akaweereza ng’omuwi w’amagezi era omuwabuzi naye takubenga kalulu ku bisalibwaawo mu Kakiiko ako. Anaaweerezaanga ku Kakiiko kano okutuusa lw’anaafanga oba okukaddiwa ennyo oba okukoseka nga takyaasobola mirimu, oba okusaba yennyini okulekulira.

Katikkiro awummudde anaasigalanga muwi w’amagezi wa mukama we Mukalo, era aneebuzibwangako eby’ensonga buli kinaabaanga kyetagisizza.

Katikkiro awummudde yekka oba amazeeko ebisanja bye anaasigalanga akyayitibwa Katikkiro Eyawummula obulamu bwe bwonna okujjako ng’agobeddwa ku bwa Katikkiro oba ng’akoze ekivve ekikasiddwa Olukiiko lw’Ennono. Ensalawo y’Olukiiko lw’Ennono ku nsonga eno enesigamizibwaanga ku bujulizi obuleeteddwa obutatankanwa.

Katikkiro awumudde anaawebwaanga ekitiibwa kinene ku mikolo emitongole egy’ekika era anaalagibwaanga mu bantu.

1.5 Emirimu Emitongole egya Katikkiro
 Katikkiro y’anakolanga emirimu gyonna Mukama we Mukalo gy’anaabanga asiimye gikolwe     olw’obulungi bw’Ekika.
 Y’anaabanga n’obuyinza bwa Mukama we Mukalo okutegekera Ekika oba okugonjola ebiba     bikyaamye.
 Y’anasookerwaakongako ensonga zonna ez’amaanyi ezikwaata ku Kika ezinaabanga zizze mu     mbuga ya Mukalo Ku kasolya, awo naalyooka azanjulira Mukama we Mukalo.
 Y’anabaanga omukulembeze era ssentebe w’Akakiiko Akafuzi oba Akaweereza.
 Analoondanga Akakiiko Okaweereza (Cabinet) kamuyambenga okuddukanya emirimu     emitongole.
 Anaafuganga era n’awabula bamemba b’akakiiko akaweereza.
 Anaagobanga obuwufu empereza ya bammemba b’Akakiiko Akaweereza.
 Anatuuzaanga era n’akubiriza Akakiiko Akaweereza.
 Anaakolanga wamu ne minisita be entegeka y’emirimu ey’omwaaka (work plan) n’ensasaanya     y’ensimbi (budget) nga bino birambulula mu bujjuvu enkola ye nga bwenebaanga omwaaka     ogwo.
 Anaayanjuliraanga Mukalo n’Olukiiko Olw’ennono entegeka y’emirimu ey’omwaaka wamu     n’ensasaanya y’ensimbi nga bwebinaabanga birambuluddwa okukolebwa omwaaka ogwo.
 Anaayanjulaanga mu Olukiiko Lwabonna entegeka y’emirimu ey’omwaaka wamu n’ensasaanya     y’ensimbi nga bwebinaabanga birambuluddwa okukolebwa omwaaka ogwo.
 Anaagobaanga obuwufu enkola y’emirimu wamu n’ensasaanya y’ensimbi.
 Ananyonyolanga mu buwandiike ne mu bigambo mu Lukiiko Lwabonna buli nkomerero ya     mwaaka (emyeezi kkumi n’ebiri) gw’eby’emirimu n’ogw’eby’ensimbi entambula y’emirimu     n’ensasanya bye yayanjula ng’omwaaka ogwo gutandika.
 Y’anayogereranga Ekika ku nsonga zonna entongole.
 Anabaanga muwandiisi w’Olukiiko Lw’ennono.
 Y’anaasalanga emisango egy’enkayana oba obutakkanya egijjulidde okuva mu mitendera     egy’enjawulo mu Kika, okugeza ng’egivudde mu masiga. Mu mulimu guno anabaanga wa     ddembe okwebuuza ku muntu yenna amannyi eby’Ekika wamu n’empisa n’obulombolombo.
 Anayanjuliraanga Mukalo ensala ye ku misango eginabaanga gireteddwa mu maaso ge.
 Anasobozesanga Ow’enjovu yenna atamatidde nsala ya Katikkiro okujulira mu mbuga ya Mukalo.
 Y’anaabikanga Mukama we Mukalo.
 Y’anaayanjulaanga omusika wa Mukalo eri Ekika n’eri Obuganda neri ensi yonna.
 Y’anaakolanga ku nsonga zonna ez’Ekika Mukalo bw’anaabanga taliiwo.
 Anaakiikiriranga Mukalo awamu n’Ekika buli lwekinabaanga kyetaagisizza.
 Anaakolanga ng’Omuwandiisi w’Olukiiko lw’Akasolya.
 Anafuganga ababaka ba Mukalo mu bitundu ng’ayita mu minister we akulembera ababaka abo.
 Anaateekanga omukono ku biwandiiko ebitongole buli lwekinaabanga kyetaagisiza.
 Anaasigiranga obuyinza eri oyo gw’anaabanga asiimye okumukiikirira mu nkiiko oba mu nsonga     ezitali zimu.
 Y’anaavunanyizibwaanga ku kukuuma, okulwaanirira, okutaasa, n’okutumbula Ekika, gattako     okulondoola, okukuuma, okutaasa n’okulabirira eby’obugagga by’Ekika yonna gyebiri.
 Anaaloondanga era n’akubiriza Omubeezi we.
 Anaakulembera entegeka ez’okutema empenda okufunira Ekika ebirungi era eby’omugaso     naddala bino:
Eby’engiriza n’obugunjufu;
 Emirimu egitwaala Ab’Enjovu mu maaso;
 Eby’emizannyo;

2. Abakungu abatuula ku Kakiiko Akaweereza (Cabinet)

2.1 Ennonda y’Abakungu abatuula mu Cabinet
Abakungu abatuula ku Cabinet banaloondebwaanga Katikkiro. Katikkiro analoondaanga omuntu yenna ey’eddira Enjovu kasita omuntu oyo anabaanga n’ebisaanyizo.

Katikkiro anayanjulanga oyo gw’aloonze ewa Mukalo era anamwogerangako ebimufaako. Nga Mukalo amaze okukakasa omuntu oyo ku bwaami, Katikkiro anamwanjulanga mu lukiiko lwabonna era nalwo ne lumukakasa.

2.2 Ebisaanyiizo
Omuntu okuloondebwa ku bwa minisita mu Kika anabaanga n’ebisaanyizo bino wammanga:

 Alina obusembi bw’Essiga mw’asibuka; era Obuganda bwe bulambikiddwa bulungi mu lunyiriri     ne mu luggya era tebutankanwa.
 Asembebwa Olukiiko lw’Ennono
 Mwetegefu okuweereza mu Cabinet
 Muwagizi wa lulango ow’Ekika kye wamu n’Obuganda
 Muwulize eri Ssabasajja Kabaka
 Assa ekitiibwa mu nnono n’obulombolombo; era alina obumanyirivu obusaana mu byo.
 Y’asoma wakiri n’atuuka mu siniya ey’okuna era alina empisa ezomu bantu.
 Asobola okwogera mu bantu obulungi n’okubawa obubaka obulangulukufu.
 Akolagana bulungi n’abantu bonna awatali kusosola ng’asinziira ku nzikiriza zaabwe oba ku nkula     yabwe ng’abasajja oba abakazi, oba ku myaaka gyaabwe, oba ku bifo bye balimu mu nsi, oba ku     nfuna yabwe.
 Mwesimbu era si wankwe; ate takyuusakyuusa bigambo
 Alina amaka era mufumbo oba ateekateeka okuwasa oba okufumbirwa
 Mutuuze mutuufu gy’abeera era kyakulabirako mu kitundu ky’ewaabwe.
    Tazzanga ku misango gimennya mateeka.
 Tasibwangako mu kkomera oba okutanzibwa aleme kusibwa.
 Si mutamiivu
 Takolanga kivve mu nsi era taaliko bbala livumaganya mpisa ze wonna mu nsi, kakibe mu     Buganda wadde ebweeru wa Buganda.

2.3 Ebiseera Memba wa Cabinet by’anamalaanga ku bwaami
Ekiseera Omukungu atuula mu Cabinet ky’anaweerezaanga kinabaanga ky’ekimu n’ekya mukama we Katikkiro; era ebbanga terissukenga myaaka etaano egya mukama Katikkiro.

Katikkiro anabaanga n’obuyinza okukyuusa oba okujjulula oba oku
wummuza minisita yenna nga bw’anabaanga alabye. Ky’anabaanga akoze mu ngeri eno anaakyanjuliranga Mukalo, Olukiiko olw’Ennono n’Olukiiko lwabonna.

Minisita anabaanga n’eddembe okusaba Katikkiro awumule emirimu egyamuweebwa yadde ng’emyaaka etaano teginaggwako. Anawaanga Katikkiro ensonga mu buwandiike emusindise okuwummula. Kino omukungu asaba okuwummula anakikolaanga ng’ebula ekiseera ekisaanidde kiryooke kisobozese Katikkiro okuloonda omuntu omulala adde mu kifo kye. Katikkiro anategeezaanga Omutaka Mukalo mu buwandiike ku kuwummuka kw’omukungu ono; era anategeezaanga mu butongole Olukiiko lw’Ennono n’Olukiiko Lwabonna.

2.4 Engeri Omukungu gy’anayisibwaangamu ng’awummudde emirimu
Bw’anavaanga ku buweereza buno, Omukungu awummudde anaasigalanga akyayitibwa mukungu era anaafuukanga omuwi w’amagezi era omuwabuzi eri Akakiiko Akaweereza (Cabinet)obulamu bwe bwonna okujjako ng’asabye olw’obutakyasobola oba ng’agobeddwa oba ng’akoze ekivve ekikasiddwa Olukiiko lw’Ennono. Ensalawo y’Olukiiko lw’Ennono ku kivve en’esinziiranga ku bujulizi obuleeteddwa obutatankanwa.

2.5 Emirimu eginakolebwaanga buli Minisita
Buli minisita anabaanga n’obuvunanyizibwa buno wammanga
 Okuyamba Katikkiro okukola emirimu emitongole egy’Ekika n’okutuukiriza obuvunanyizibwa     obwamukwaasibwa.
 Okukulembera ekitongole ky’aba awereddwa Katikkiro okukikulira
 Okukola nga nnakyeewa
 Okuwangaayo obudde okubeera mu ntuula za Cabinet n’okukola emirimu egyamuweebwa.
 Okuwagira Katikkiro n’okugondera ebiragiro bye ku bikwaatagana n’omulimu gwe.
 Okuwagira, okugondera n’okussa mu nkola ebiteeso ebiba biyisiddwa Cabinet.
 Okukuuma ebyaama kw’ebyo byonna ebiteesebwa mu Cabinet n’ebikwaata ku Gavumenti y’Ekika     okutwaalira awamu.
 Okuteseza awamu ebbago ery’omwaaka ery’enkola y’emirimu n’enfulumya ku mirimu egyo nga     bweneeba omwaaka ogwo (annual work plan and budget).
 Okwanjulira Katikkiro ne Cabinet enkola enegoberwanga mu kitongole kye (policy).
 Okukola ebbago ery’omwaaka nga liraga emirimu emitegeke egy’ekitongole n’enfulumya     entegeke liryooke litesebweeko era litekebwa mu eryo ery’awamu Katikkiro ly’alina okwanjula mu     Lukiiko Olufuzi ne mu Lukiiko Lwabonna (ministerial work plan and Budget).
 Okukola alipoota buli mweezi, buli myeezi esatu, ne buli nkomerero y’amwaaka nga alipoota eyo     eraga entambula y’emirimu nenfulumya ya ssente

2.6 Cabinet ya Katikkiro
Cabinet enebaangamu ebitongole Katikkiro by’anasalangaawo okweyambisa
okutuukiriza obuvunanyizibwa bwe mu kaseera ako.

Mu kiseera kino ebitongole biwera 17. Buli kitongole kirina akikulira n’omumyuuka. Katikkiro naye alina omumyuuka.

Bano wammanga be bakungu (baminisita) abakulemberaanga ebitongole ebyo n’abamyuuka baabwe:

1. Spiika (Speaker) n’omumyuuka we
2. Omuwandiisi w’Ekika n’omumyuka we
3. Omukwanaganya w’Ekika n’omumyuka we
4. Omuwi w’amagezi;
5. Omuwanika w’ekika n’omumyuka we
6. Ow’amawulire
7. Ow’enkulakulana n’enteekateeka n’omumyuka we
8. Ow’abavukuka n’omumyuka we
9. Ow’abakyaala n’omumyuka we
10. Ow’eby’engigiriza n’omumyuka we
11. Ow’eby’emizannyo.
12. Ow’eby’obuwangwa n’ennono
13. Ow’eby’amateeka n’omumyuuka we
14. Ssentebbe w’a babaka ba Mukalo n’omumyuka we
15. Omukwasisa w’empisa n’ebiseera n’Omumyuuka we
16. Ow’okukunga abantu n’Omumyuka we
17. Akola emirimu egy’enjawulo n’Omumyuka we

Katikkiro anaabaanga n’obuyinza okutondaawo oba okukendeza ebitongole okusinziira ku mirimu egiriwo. Ky’anabaanga akoze mu ngeri eno anakyanjuliranga Mukalo wamu n’Olukiiko lw’Ennono n’Olukiiko Lwabonna.

2.7 Emirimu gya Baminisita kinn’omu
2.7.1 Sipiika n’Omumyuuka we

Obuvunanyizibwa bwa Sipiika obukulu bunabaanga kukubiriza Lukiiko Lufuzi nga lutudde era gye ginabaanga emirimu gye ngatuukiriza obuvunanyizibwa obwo:

 Y’anabaanga Ssentebe w’Olukiiko Olufuzi era y’analukubirizaanga.
 Avunaanyizibwa okulaba nga e Kika kitambulira ku Ssemateeka wakyo.
 Y’omu ku bawabuzi b’Omutaka Mukalo n’olukiiko.
 Anaateekateekanga olukalala lw’eby’okuteesaako ng’akolagana ne office ya Katikiro.
 Anaayitanga enkiiko z’olukiiko olufuzi ezabulijjo n’ez’enjawulo.
 Anaakubirizanga okulonda kwonna okunaaberanga mu lukiiko olufuzi.
2.7.2 Omuwandiisi w’Olukiiko Olufuzi n’Omubeezi we:

Obuvunaannyizibwa bw’Omuwandiisi w’Olukiiko Olufuzi bwe buno:

 Okukulira eggwandisizo ly’ekika
 Okukumaanga ebiwandiiko n’ebyaama byonna eby’ekika, ng’omwo mwe muli n’ebyaama by’abazukulu.
 Okuwandiika ebiteeso byonna ebiteesebwa mu nkiiko z’ekika awamu n’okukuuma ebiwandiiko by’ekika obulungi.
 Okuddangamu amabaluwa oba ebiwandiiko ebiwandikibwa eri Ekika nga Katikiro amulagidde oba Omutaka Mukalo.
 Okuteekanga omukono gwe ku biwandiiko ebineetaagisanga omukono gwe.
 Okutegekanga entuula z’olukiiko olufuzi.
 Okukolanga emirimu gyonna nga bw’eginaabanga gimuwereddwa Katikiro.
 Okulaba nga akuuma ebyaama by’ekika n’obwesimbu n’amazima.
 Okuwererezanga ebiteeso ebiyisiddwa mu Lukiiko olw’a Kasolya.

2.7.3 Omuwanika
Emirimu gy’Omuwanika n’Omubeezi we ginabaanga gino:
 Okukulira eggwanika ly’ekika
 Okukulira ensawo y’ekika
 Anaakumanga ebitabo ebiraga enyingiza awamu nenfulumya ye’nsimbi mu kika.

Anaterekanga n’okulabirira ensimbi z’ekika mu banka enesalibwangawo Cabinet. Olukiiko olufuzi lunamanyisibwaanga ku nsonga eno.

Anabaanga omu ku bantu abasatu abanavunanyizibwanga okuddukanya ensawo y’Ekika ng’abalala ye Katikkiro n’Omuwandiisi Omukulu ow’ekika.

Anabaanga omu ku basatu abanassaanga emikono ku cheque za banka. Abalala banabaanga Katikkiro n’omuwandiisi. Omukono gw’Omuwanika tegubulengako.

Omuwanika amaawanga alipoota empandiike ekwata ku by’ensimbi omuludi gumu buli luvanyuma lyemyezi esatu mu lukiiko olufuzi.

Omuwanika anaagabanga alisiti eri buli mutu yenna anaalanga amuwadde sente nga za kika.

Anaakuumanga olukalala olw’ebintu byonna eby’obuggaga bw’e Kika.

Anaateekaanga omukono ku biwandiiko byonna ebyetaagisa omukono gwe.

Anaakolanga emirimu emirala gyonna eginnamutumwanga Katikkiro.

Omuwanika anayambibwangako akakiiko k’eby’ensimbi.

2.7.4 Omukwaanagannya (Protocol - Org. Sec) n’omubeezi we:
Ono y’avunaannyizibwaanga ku kukwaanaganya entambula y’emirimu mu Kika, era anakolaanga bino:
Okuteekateeka entambula y’Omutaka Mukalo ku nsonga z’e Kika.
Okuwandiika Mukalo by’anayogera mu nkung’ana entongole ne ku mikolo
Okuteekateeka emikolo gy’e Kika.
Okukola alipoota ku ntambula za Mukalo n’ebyo ebiba bifudde ku nkung’ana ne ku mikolo.
2.7.5 Omuwi w’Amagezi
Omukungu anabaanga muwabuzi era anebuuzibwaangako ku nkola ey’enzirukanya y’emirimu n’amateeka g’ensi agateekwa okugobererwa mu nzirukanya y’ekika wamu n’eby’obuwangwa. Mu kukola bino, obuvunanyizibwa bunabaanga buno:

 Y’anakubirizaanga olukiiko lw’akakiiko akawabuzi
 Okuwabulanga ab’e Kika naddala mu kuteekawo enkola empya n’obukiiko obulondebwa.
 Okulaba nga ebikolebwa mu Kika tebimennya mateeka ga ggwanga.
 Okulaba nga eby’obuwangwa mu Kika bitambuzibwa bulungi era nga bikuumwa butiribiri wonna webiri nga n’ababirimu beebo abatuufu okubibeeramu.
2.7.6 Ow’enkulakulana n’enteekateeka n’Omubeezi we
Omukungu ono y’anakolaanga enteekateeka ez’okukuza n’okutumbula enzirukanya y’emirimu mu kika wamu n’okuzuula amakubo aganayamba Abazzukulu okugenda mu maaso mu by’enfuna.

 Okwetegerezaanga buli kaseera enteekateeka y’ekika (organization) n’enzirukanya y’emirimu wamu n’awakolerwa.
 Okukola ebbago ery’okwekulakulanya buli mwaaka nga liraga n’embalirira (annual development plan and budget).
 Okutema empeenda ez’okukulakulannya eKika wamu n’abazzukulu, okugeza ng’okuteekawo Pulojekiti.
 Okunoonyeza ekika obuyambi n’okuyunga ekika ky’Enjovu ku bibiina eby’okwekukulakunya era ebigaba obuyambi.
 Okukola alipoota emirundi ebiri omwaaka okulaga awatuukiddwa mu ntegeka y’okukulakulana.

2.7.7 Ow’eby’amateeka n’Omubeezi we
Obuvunanyizibwa bw’Omukungu ono bunabaanga bwebuti:
 Okuwabula n’okulung’amya ensonga zonna ezikwaata ku mateeka ag’eggwanga naddala ago agakwaata ku bukulembeze obw’ensikirano n’obuwangwa.
 Okuwa amagezi ku nsonga yonna ekwaatagana n’amateeka.
 Okukulembera okuvunaana okukoleddwa ekika mu mbuga z’amateeka.
 Okukulembera okwewozaako ssinga ekika kiba kiwawabiddwa mu mbuga z’amateeka.
 Okubaga ebiwandiiko by’ekika mu mateeka.

2.7.8 Ow’eby’obuwangwa n’ennono n’Omubeezi we
 Okutekawo n’okulondoola enkola egobererwa mu by’obuwangwa n’ennono mu Kika era okulaba nti enkola entuufu egobererwa wonna mu kasolya, mu masiga, mu nyiriri ne mu mpya.
 Okuzuula n’okuwandiika ebifo eby’obuwangwa n’ennono ebiri mu Kika (recording clan cultural heritage sites).
 Okukola entegeka (plan) okukuuma n’okukomeka ebifo eby’obuwangwa n’ennono (protection and preservation of cultural and heritage sites).
 Okuyiiya amagezi ag’okulabirira ebifo by’obuwanga n’ennono bifuuke eby’obulambuzi era bifunweemu ssente eziyamba ekika (turning cultural and heritage sites into income-generating sources).
 Okulondoola n’okutereeza emirimu emitongole Ekika gyekikola ku Kabaka mu Lubiri.
 Okuteekateeka emisomo egy’obulombolombo n’ennono mu kika.
 Ng’ayita mu Katikkiro, okukola alipoota buli myeezi esatu na buli nkomerero y’amwaaka okulaga Olukiiko lw’Ennono n’Olukiiko Olufuzi ebiba bituukiddwaako mu by’obuwangwa n’ennono.
 Okutuukiriza obuvunanyizibwa bwonna obukwaata ku by’obuwanga n’ennono mu kika.

2.7.9 Ssentebe w’Ababaka ba Mukalo n’Omubeezi we
 Okulaba nga mu masaza gonna aga Buganda n’a Magombola waliyo Omubaka wa Mukalo.
 Okuleetaanga ewa Katikkiro alipoota eziva mu bitundu ababaka gyebali.
 Anaakolanga enteekateeka okutuuzaanga enkiiko z’ababaka ba Mukalo wakiri omulundi gumu buli mwaka.
 Anaakolanga enteekateeka gy’anayanjuliraanga Katikkiro okumusobozesa okuddukannya offiisi ye.
 Anaakolaanga emirimu emirala gyonna nga Katikkiro bwanaabaanga amusabye.

2.7.10 Ow’amawulire ne pokopoko
Omukungu ono anabunyisaanga amawulire wonna mu nsi ku bikwaata ku kika, era anakibunyisaanga wonna n’okukiyimbirira. Gino gy’egimu gy’anakolaanga okutukiriza obuvunanyizibwa buno:
 Okutunda ekika ky’Enjovu awamu n’enkola yaakyo mu Buganda n’ebweru wa Uganda.
 Okusasaanya amawulire mu b’enjovu yonna gyebali nga akolaganira wamu ne office y’omukunzi (Mobilizer) nga akozesa empuliziganya zonna nga, radio, amabaluwa n’engeri yonna esoboka.
 Okuyunga enkiiko zonna ez’ekika ky’enjovu nga atuusa amawulire mu buli lukiiko.
 Okulaga ekifanaanyi ekirungi eky’Ekika eri abazukulu awamu ne bika ebirala.
 Anatumwaanga emirimu emirala gyonna eginaamutu mwaanga Katikkiro nga bwanabaanga alabye.

4.7.11 Omukwasisa w’empisa n’ebiseera n’Omubeezi we
 Okukwasisa abazukulu empisa ez’okugobererwa mu lukiiko ne wabweru w’olukiiko.
 Okulungamya empisa n’obulombolombo mu Kika.
 Okulung’amya enkola egobererwa ng’enkiiko zitudde.
 Anaakwasisa nga empisa mu nnyambala ne mpisa z’o Buganda bweziri.

2.7.12 Ow’abavubuka

Obuvunanyizibwa obukulu obw’Omukungu ono kwe kukola ku nsonga zonna ez’abavubuka n’ebyo byonna ebikwaatagana n’ebyekivubuka. Mu kutuukiriza obuvunanyizibwa bwe anakolaanga bino:

 okukuunga abavubuka abe kika bonna mu masaza
 Okukola enteeka teeka zokufunira abalubuka emirimu nga telakola.
 Okutuzanga enkiiko za bavubuka buli luvanyuma lwa mwezi esatu
 Okukyalira abavubuka mu buli ssazalya bugawa abekika.
 Okolagira amamu wo’na mizanyo mu kutumbula ebyemizannyo mu kika.
2.7.13 Ow’abakyala
Omukungu ono y’anavunanyizibwaanga ku by’abakyaala n’ensonga zonna ezikwaatagana n’eby’ekikazi. Anakolanga bino okutukiriza obuvunanyizibwa obwo:

 Okukuuga abakyala abeddira Enjovu mu mesaaza gonna age Buganda.
 Okutanzanga enkiiko za bakyala buli luvanyuma lwa myezi 3 ku offisi ye kika e lubya oba mu kifo analasa wonna nga bwaanabanga asazeewo.
 Okutegeka emisomo egikwete ku kika awamu ne birala ebyenzi ebiyamba abakyala neggwange okutwalira awamu.
 Anabaanga nantebbe wa bakyala bonna mu kika era amaalo ndanga akakiiko akaddunya ensonga z’abakyala mu kika.

2.7.14 Ow’eby’emizannyo
Avunanyizibwa bw’okukunga abavubuka bona abeddira enjovu abawala nebalenzi n’okubaagazisa ennyo ekika kyabwe nga ayita mu mizannyo.
 Okutulaanga mu nkiiko z’e Kika n’okuziwa aliipoota mu byonna eby’emizannyo.
 Okulaba n’emizannyo gy’ebika byonna abaana ab’eddira e Njovu bagyetabemu.
 Okukola enteekateeka y’okutumbula emizannyo mubuli Saaza mu b’eddira e Njovu.
 Okulonda olukiiko lw’anaddukannya naye eby’emizannyo mu Kika.

2.7.15 Ow’eby’enjigiriza
Omukungu ono y’anabaanga n’obuvunanyizibwa okulaba ng’abaana abeddira enjovu basoma era nga babangulwa mu bintu ebitali bimu ebigasa Buganda wamu n’okugunjulwa babeere abantu balamu mu maka gaabwe ne mu Bantu bannaabwe.
Avunannyizibbwa okulaba nga abaana abeddira Enjovu basoma amasomo nga bulijjo n’okukuguka mu mirimu egitali gimu.
Okunonya obuyambi mu byokusoma naddala eri abo abatasobola kufuna bisale by’amasomero.
Okutegeka enisomo mu kika.
Okukwanaganya na’babaka be Mukalo mu buli Ssaza ku nsonga zokusoma ne merimu eri ab’eddira e Njovu.
Okutuulanga mu buli lukiiko olwa buli mweezi n’okukola alipoota ku by’enjigiriza nga bwebiyiridde mu Kika.

2.7.16 Ow’okukunga abantu
Obuvunanyizibwa bw’Omukungu ono bunabaanga bwa kukunga abeddira enjovu mu Uganda n’ebweru wa Uganda. Anatukirizaanga obuvunanyizibwa buno ng’akola bino:

Alina okumanyisa ab’enjovu bonna gyebali ku nkiiko z’Omutaka Mukalo awamu n’olukiiko olufuzi n’okubakunga.
Okukunga ab’ekika mu miko gyekika nga’kolaganira wamu n’owa’mawulire

Okuteekawo akaliiko oba obukiiko obukola ku kukunga ab’e kika nga bwanaberanga alabye ekisanidde.

Okutuulanga mu nkiiko zonna ez’olukiiko olufuzi awamu n’endala gy’abeera ayitiddwa mu kika okusobola okumanya emirimu egyetaagisa okukola awamu n’okuwa alipoola.

2.7.17 Ow’emirimu Egy’enjawulo (Special Duties)

Omukungu ono tabeenga na mirimu gya nkalakalira wabula anakolanga egyo egimuweebwa Katikkiro naddala egyo egiba giguddewo mu obugwi

3. Ababaka ba Mukalo mu bitundu
3.1 Ennonda y’ababaka ba Mukalo
Omutaka Mukalo anaaloondanga ababaka mu magombolola n’amasaza wonna mu Buganda n’ebweru wayo. Kino anaakikolaanga ng’amaze okwebuuza ku Bantu abakulu mu Kika nga muno mwemuli Katikkiro, Abennyiriri ez’omu Kasolya wamu n’Abamasiga.

Mukalo anayanjulaanga omubaka we oba ababaka be mu Lukiiko Lw’ennono era ne Lukiiko Lwabonna.

Olukiiko Lw’ennono lunamalanga kukakasa oyo alondeddwa ng’omubaka wa Mukalo n’alyooka ayanjulwa mu Lukiiko Lwabonna era n’asiimwa olwo n’alyooka atandika emirimu gye.

3.2 Ebisaanyiizo by’Omubaka wa Mukalo
Omubaka wa Mukalo kitundu anabaanga n’ebisaanyizo bino wammanga:

 Alina obusembi bw’Essiga mw’asibuka era Obuganda bwe bulambikiddwa bulungi era tebutankanwa.
 Asembebwa Olukiiko lw’Ennono
 Asembebwa Katikkiro ne Cabinet ye
 Muwagizi wa lulango ow’Ekika kye wamu n’Obuganda
 Muwulize eri Ssabasajja Kabaka
 Assa ekitiibwa mu nnono n’obulombolombo; era mukenkufu mu byo.
 Y’asoma wakiri n’atuuka mu siniya ey’okuna era mugunjufu.
 Asobola okwogera mu bantu obulungi n’okubawa obubaka obulangulukufu.
 Akolagana bulungi n’abantu bonna awatali kusosola ng’asinziira ku nzikiriza zaabwe oba ku nkula yabwe ng’abasajja oba abakazi, oba ku myaaka gyaabwe, oba ku bifo bye balimu mu nsi, oba ku nfuna yabwe.
 Mwesimbu era si wankwe; ate takyuusakyuusa bigambo
 Alina amaka era mufumbo
 Mutuuze mutuufu gy’abeera era kyakulabirako mu kitundu ky’ewaabwe.
Tazzanga ku misango gimennya mateeka.
 Tasibwangako mu kkomera oba okutanzibwa aleme kusibwa.
 Si mutamiivu
 Takolanga kivve mu nsi era taaliko bbala livumaganya mpisa ze wonna mu nsi, kakibe mu Buganda wadde ebweeru wa Buganda.

3.3 Ekiseera Omubaka wa Mukalo ky’anamalanga ng’aweereza
Omubaka wa Mukalo anaaweerezaanga ekisanja kya myaaka etaano(5). Tasussenga myaaka kkumi ku bubaka okuggyako nga Mukalo y’amusabye okweyongerayo. Mukalo bw’anaamwongerayo, ekiseera tekisussenga myaaka mirala ebiri (2); era Mukalo anaategezaanga Olukiiko Lw’ennono ne Katikkiro. Olwo Katikkiro n’alyooka ayanjula ensonga eno mu Lukiiko Lwabonna.

Omubaka wa Mukalo anaabaanga n’eddembe okusaba Mukalo okuwummula ng’emyaaka etaano teginnaggwaako. Omubaka anawaanga mu buwandiike ensonga kw’avudde okuwummula.

Bw’anaatuusanga okuwummula, omubaka anaasabaanga Mukalo amukkirize ng’ebula emyeezi egitakka wansi wa mukaaga, kiryooke kisobozese Mukalo okuba n’obudde obumala okuloonda omuntu omulala adde mu kifo kye. Mukalo anaamanyisanga mangu Olukiiko olw’Ennono n’Olukiiko Lwabonna ku kuwummula kw’omubaka ono.
3.4 Emirimu gy’ababaka ba Mukalo

Ababaka banabaanga n’obuvunanyizidwa buno:

 Okukumaakuma ab’eddira Enjovu abali mu bitundu byabwe bonna naddala mu magombolola n’okulaba nga bakola entegeka ez’okumannyagana.
 Okulaba nga emikolo gy’e Kika egiba mu bitundu byabwe gikolebwa nga gigoberera emitendera gyagyo mu kika.
 Okulaba nga ab’eddira Enjovu emikolo gyebakola tegikontana na buwangwa bwaffe Abaganda.
 Okuleetanga amawulire agafa mu masaza gaabwe buli mweezi ng’ayita mu office ya Katikkiro; era okukakasa nti amawulire ago ganjulibwa mukama waabwe atuula mu Cabinet mu Lukiiko olufuzi olw’e Kika e Lubya.
 Okutegekanga enkiiko z’okumannyagana mu Kika mu bitundu byaabwe buli mwaka.
 Okuteekateeka olukiiko olunene olw’abeddira Enjovu mu kitundu kyatwaala ng’akyaaza ne Mukalo awamu n’ababaka okuva mu lukiiko olufuzi okulwogereramu ebifa ku Kika.
 Okutereeza ensonga zonna ezamuweebwa Mukalo mu kitundu mu linnya lye.
 Okukikirira Mukalo ku mikolo oba mu nsonga ezikwaata ku buwangwa n’ennono; era n’okunnyikiza ekika mu beddira Enjovu.
 Okukolagana obulungi n’Abamasiga n’Ab’ennyiriri zomu kasolya abali mukitundu kye okutereza ensonga z’Ekika.

4. Ababaka b’Abakulu b’Amasiga n’ab’Ennyiriri zomu Kasolya

4.1 Ennonda y’ababaka bano

Buli Wassiga na Walunyiriri olwomu kasolya anaawerezanga ababaka babiri(2) okumukikirira mu lukiiko olufuzi.

Abakiise bano banaloondebwaanga mu lukiiko lwa Ssiga oba mu Lunnyiriri olwomu kasolya. Olukiiko luno lunakubirizibwaanga Wassiga oba Walunnyiriri olwomu kasolya yennyini era tagaanenga oyo anabaanga alondeddwa abasinga obungi.

4.2 Ebisaanyiiso
Omubaka w’Essiga oba Ow’olunyiriri olwomu kasolya anabaanga n’ebisaanyizo bino wammanga:

 Alina obusembi bw’olunyiriri mw’asibuka bw’aba omubaka w’Essiga; oba obusembi bw’oluggya bw’aba ava mu lunyiriri olwomu kasolya.
 Obuganda bwe bulambikiddwa bulungi era tebutankanwa.
 Asembebwa ennyiriri zomu Ssiga ezisinga obungi; oba empya ezisinga obungi mu lunyiriri lwomu kasolya.
 Asembebwa Katikkiro w’Essiga oba ow’olunnyiriri olwomu kasolya ne Cabinet ye
 Muwagizi wa lulango ow’Ekika kye wamu n’Obuganda
 Muwulize eri Ssabasajja Kabaka
 Assa ekitiibwa mu nnono n’obulombolombo; era mukenkufu mu byo.
 Y’asoma wakiri n’atuuka mu siniya ey’okuna era mugunjufu.
 Asobola okwogera mu bantu obulungi n’okubawa obubaka obulangulukufu.
 Akolagana bulungi n’abantu bonna awatali kusosola ng’asinziira ku nzikiriza zaabwe oba ku nkula yabwe ng’abasajja oba abakazi, oba ku myaaka gyaabwe, oba ku bifo bye balimu mu nsi, oba ku nfuna yabwe.
 Mwesimbu era si wankwe; ate takyuusakyuusa bigambo
 Alina amaka era mufumbo
 Mutuuze mutuufu gy’abeera era kyakulabirako mu kitundu ky’ewaabwe.
 Tazzanga ku misango gimennya mateeka.
 Tasibwangako mu kkomera oba okutanzibwa aleme kusibwa.
 Si mutamiivu
 Takolanga kivve mu nsi era taaliko bbala livumaganya mpisa ze wonna mu nsi, kakibe mu Buganda wadde ebweeru wa Buganda.

Waggulu^^

 

Events at Njovu Clan.
Amawulire n'ebifa mu kika.
Yagala nnyo ekika kyo!!

Play our clan anthem here....

Wuliriza oliyimba lye kika.koona ku ka peesa a'kaliko "Play" wangulu

Watch the clan documentary
"EKIKA KYO NJOVU" on DVD
____________________________
The Njovu Clan at the BUGANDA CULTURE & TOURISM EXPO 2011

E'kika kye Njovu ku mikolo gya
BUGANDA CULTURE & TOURISM EXPO 2011
______________________________

 
 
 
Mail/Ebbaluwa yo © 2008-11 Njovu Clan Webmaster | Credits