Versions:    < English  |  Luganda >
   
         
Wandikira: Katikiro w'ekika kye'njovu
P.O. Box 1250 Kampala
E-mail: katikkiro@njovu.org,  +256 752 728738

Ebitufaako
Entandikwa Y’ekika Ky’enjovu N’ebyafaayo Byaakyo
Amannya G'abeddira Enjovu
Enteekateeka Y’ekika Ky’enjovu Mu  Mitendera  Egy’enjawulo
Emirimu Gy’ab’enjovu Ku Kabaka
Obukulu Obw’ensikirano Mu Kika
Obukulu_obutali_bwa_nsikirano_mu_kika
Enkiiko_enkulu_ezekika
Obuwangwa_ennono_obulombolombo_n_empisa

Translation Credits

Contact

Prime Minister Njovu Clan
P.O. Box 1250 Kampala
E-mail: katikkiro@njovu.org
Website: www.njovu.org
Sign in to read mail
   
 
 
Eka   |    Ebitufaako  >>       Obukulu Obw’ensikirano Mu Kika   

Obukulembeze oba obukulu obw’ensikirano mu Kika ky’Enjovu bwa mitendera mukaga era gyegino wammanga:

1. Obukulu Obw’Akasolya.
Omutaka Mukalo mukulu ow’akasolya afuga Ekika ky’Enjovu kyonna. Nga bwe twaalabye wagulu obutaka bwe buli Kambugu mu Busiro. Obwamukalo bwa nsikirano. Asikira obwamukalo aloondebwa mu Lunnyiriri lwa Kinviirewo.

Omutaka Mukalo y’atuusa abeddira enjovu ku Ssabataka Ssabasajja Kabaka.

Obuvunanyizibwa bwa Mukalo obusinga obukulu kwe kukunga, okukumakuma n’okukulembera abantu bonna abeddira enjovu wonna mu nsi. Mu buvunanyizibwa buno muvaamu emirimu gino:

 Okukuuma ennono, empisa, obulombolombo n’obuwangwa bw’ekika ky’enjovu.
 Okugatta abeddira enjovu ku bika ebirala eby’Abaganda mu kukuuma ennono, empisa,     obulombolombo n’obuwangwa mu nsi Buganda.
 Okutuusa abeddira enjovu ku Ssabasajja Kabaka era Ssabataka mu Buganda.
 Okukikiriranga ekika mu ntuula z’ebika by’Abaganda n’ezo eziba ziyitiddwa Ssabasajja Kabaka.
 Okussawo enfuga ennung’amu mu kika n’okukakasa ng’egobererwa okutuukiriza ebigendererwa     by’ekika.
 Okukubiriza Olukiiko Lw’ennono
 Okwanjulira Olukiiko lw’ennono olwa kasolya amannya ag’okuloondamu Katikkiro; era okukakasa     nti Katikkiro aloondebwa mu bwenkanya n’amazima.
 Okukwaasa Katikkiro gavumenti y’ekika.
 Okwanjulira Olukiiko Olufuzi oyo aba aloondeddwa ku bwakatikkiro.
 Okwanjulira Olukiiko Lw’ennono n’Olukiiko Olufuzi oyo aba avudde ku bwakatikkiro.
 Okuloondoola enkola ya Katikkiro ne gavumenti ye.
 Okuddizibwa gavumenti ng’ebiseera bya Katikkiro ebyamuweebwa okugikulembera biweddeko     oba Katikkiro ng’awummudde ng’ebiseera ebyo tebinnaggwaayo.
 Okuggulawo n’okuggalawo Olukiiko Olufuzi buli ntandika n’enkomerero y’omwaaka.
 Okuwa obubaka bwa Mukalo mu buli lutuula lw’Olukiiko Olufuzi era n’Olukiiko Lwabonna.
 Okugemulira abazzukulu ababa bakoze eby’enjawulo nga Mukalo bwanabaanga awereddwa     Katikkiro amagezi ku nsonga eno.

2. Obukulu bw’Ennyiriri ezomu Kasolya.
Ennyiriri Ennangira ezetuukira obutereevu mu Kasolya ziri munaana nga bwe twaalabye waggulu. Za nsikirano. Zikulemberwa baganda b’Omutaka Mukalo.

Obuvunanyizibwa bw’Abakulu b’ennyiri zomu kasolya kwe kukunga,kukumakuma, kugatta n’okukulembera abaana n’abazzukulu abeddira enjovu mu nnyiriri zaabwe nga bali wansi wa Mukalo. Banaakolaanga emirimu gino okutuukiriza obuvunanyizibwa obwo:

 Okugondera Mukalo ne Katikkiro.
 Okukuuma ennono, empisa, obulombolombo n’obuwangwa bw’ekika ky’enjovu mu nnyiriri     zaabwe.
 Okukiika mu Lukiiko Lw’ennono mu kasolya ne Lukiiko Olufuzi
 Okugondera n’okusa mu nkola ebiba bisaliddwaako mu nkiiko enkulu.
 Okussawo enfuga ennung’amu mu lunyiriri n’okukakasa ng’egobererwa okutuukiriza     ebigendererwa by’ekika.
 Okuteekawo n’okukubiriza olukiiko lw’abakulembeze b’empya mu lunyiriri.
 Okuteekawo n’okubeera n’ekifo kya Katikkiro w’olunyiriri era okukubiriza olukiiko lwabakulembeze     b’empya okuloonda Katikkiro w’olunyiriri.
 Okusaawo olukiiko olufuzi olw’olunyiriri nga lukubirizibwa Sipiika omuloonde.
 Okwanjula Katikkiro w’olunyiriri eri abakulembeze b’empya n’eri olukiiko olufuzi.
 Okuloondoola enkola ya Katikkiro w’olunyiriri ne gavumenti ye.
 Okuwa Mukalo alipoota buli mweezi ku bigambo byonna eby’ekika ebifa mu lunyiriri.
 Okwanjula ennyimbe mu Lukiiko Olufuzi.
 Okugoberera, okulondoola, n’okutereeza enjabya y’ennyimbe mu lunnyiriri.
 Okukwanaganya emirimu n’omubaka wa Mukalo mu kitundu.
 Okuteekawo omukolo ogw’okumanyagana wakiri omulundi gumu omwaaka.

3. Obukulu bw’Amasiga
Obukulu obw’amasiga bulimu abaana abaazaalibwa Omukulu w’Akasolya Omutaka Mukalo. Ab’Amasiga nabo bali munaana nga twaalabye mu nnyingo esooka, era obukulu bwaabwe bwa nsikirano.

Obuvunanyizibwa bw’Abakulu b’amasiga kwe kukunga, okukumakuma, okugatta n’okukulembera abaana n’abazzukulu abeddira enjovu mu masiga gaabwe nga bali wansi wa Mukalo. Abakulu b’amasiga banaakolaanga emirimu gino okutuukiriza obuvunanyizibwa obwo:
 Okugondera Mukalo ne Katikkiro.
 Okukuuma ennono, empisa, obulombolombo n’obuwangwa bw’ekika ky’enjovu mu masiga     gaabwe.
 Okukiika mu Lukiiko Lw’ennono mu kasolya ne Lukiiko Olufuzi
 Okugondera n’okusa mu nkola ebiba bisaliddwaako mu nkiiko ezo ezogeddwaako waggulu.
 Okussawo enfuga ennung’amu mu ssiga n’okukakasa ng’egobererwa okutuukiriza     ebigendererwa by’essiga n’ekika.
 Okuteekawo n’okukubiriza olukiiko lw’abakulembeze b’emituba.
 Okuteekawo n’okubeera n’ekifo kya Katikkiro w’essiga
 Okukubiriza olukiiko lw’abakulembeze b’emituba okuloonda Katikkiro.
 Okusaawo olukiiko olufuzi olw’essiga nga lukubirizibwa Sipiika omuloonde.
 Okwanjula Katikkiro w’essiga eri abakulembeze b’emituba n’eri olukiiko olufuzi olw’essiga.
 Okuloondoola enkola ya Katikkiro ne gavumenti ye.
 Okuwa Mukalo alipoota buli mweezi ku bigambo byonna eby’ekika ebifa mu ssiga.
 Okwanjula ennyimbe mu Lukiiko Olufuzi olw’ekika.
 Okugoberera, okulondoola, n’okutereeza enjabya y’ennyimbe mu ssiga.
 Okukwanaganya emirimu n’omubaka wa Mukalo mu kitundu.
 Okuteekawo omukolo ogw’okumanyagana wakiri omulundi gumu omwaaka.

4. Obukulu bw’Emituba
Ab’emituba be baana ba b’Amasiga era mu bukulu mu Kika be baddirira ba kitaabwe Ab’Amasiga mu kukulembeze.

5. Obukulu bw’Ennyiriri eziva mu Mituba gy’Amasiga
Abakulu b’Ennyiriri oba Ab’Ennyiriri be baana abazaalibwa Ab’Emituba era be baddirira ab’Emituba mu bukukulembeze bw’Ekika.

6. Obukulu bw’Empya  
Abakulu b’Empya oba Ab’Empya be baana ba b’Enyiriri era be badirira omukulembeze w’Olunnyiriri mukukulembera ekika.

7. Obukulu bw’Ennyumba:
Abakulu b’Ennyumba oba Ab’Ennyumba be baana ba b’Empya era bebasokerwaako mu bukulembeze bw’Ekika.

Abakulu ku mitendera egyo gyonna n’abo bavunanyizibwa okukola kyekimu ng’abakulu abo abogeddwaawo waggulu.

Waggulu^^

 
 

Events at Njovu Clan.
Amawulire n'ebifa mu kika.
Yagala nnyo ekika kyo!!

Play our clan anthem here....

Wuliriza oliyimba lye kika.koona ku ka peesa a'kaliko "Play" wangulu

Watch the clan documentary
"EKIKA KYO NJOVU" on DVD
____________________________
The Njovu Clan at the BUGANDA CULTURE & TOURISM EXPO 2011

E'kika kye Njovu ku mikolo gya
BUGANDA CULTURE & TOURISM EXPO 2011
______________________________

 
 
 
Mail/Ebbaluwa yo © 2008-11 Njovu Clan Webmaster | Credits